Leviticus 13:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ekyo kigenge ekigundidde ekikutte ku lususu lw'omubiri gwe. Kabona anaamulangirirangawo nti mugenge. Teyeetaaga na kumukuumira bbali yekka kubanga ono kikakafu si mulongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ebyo binaabanga bigenge eby’olutentezi ku lususu lw’omubiri gw’omuntu oyo, era kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Taasibibwenga mu kalantiini, kubanga amaze okutegeererwawo nga bw’atali mulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ebyo nga bye bigenge ddala ddala, era kabona anaamulangiriranga nga si mulongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ebyo nga bye bigenge ebitawona ku lususu lwe. Kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Tekyetaagisa kumukuumira mu kifo yekka, kubanga ddala oyo si mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bye bigenge eby'edda ku ddiba ly'omubiri gwe, era kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: tamusibanga; kubanga oyo si mulongoofu.