Leviticus 13:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ekigenge bwe kiriba kiyiye ku lususu, ne kibuna wonna ku lususu okuva ku mutwe okutuuka ku bigere, okutuusa wonna kabona w'asobola okulaba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye singa ebigenge bisaasaana ku lususu ne bituuka wonna wonna okuva ku mutwe gw’omuntu oyo okutuuka ku bigere nga kabona bw’asobola okulaba,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era endwadde y'olususu bw'efuutukanga, n'ebuna omubiri gwonna ogw'omulwadde okuva ku mutwe okutuuka ku bigere, kabona anaamukeberanga,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebigenge bwe bisaasaana ne bibuna omulwadde, okuva ku mutwe okutuuka ku bigere,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebigenge bwe bifuutuukanga ku ddiba, ebigenge ne bibuna eddiba lyonna ery'omulwadde okuva ku mutwe okutuusa ku bigere, okulaba kwonna kabona kw'anaalabanga;