Leviticus 13:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona bw'agirabanga, anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Ennyama ento si kintu kirongoofu, n'omuntu mugenge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anaakeberanga ennyama eyo erungudde, n’amulangirira nga bw’atali mulongoofu. Ennyama erungudde si nnongoofu, kubanga bigenge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona anaakeberanga awalungudde, n'amwatulira nti alwadde ebigenge; si mulongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona anaamukeberanga nate. Bw'anaalabanga ebbwa, anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Ebbwa bye bigenge. Olwo omuntu oyo si mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabona anaakeberanga ennyama enjere, n'amwatulira nga si mulongoofu: ennyama enjere si nnongoofu: bye bigenge.