Leviticus 13:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ennyama ento bw'etandika okweruukirira, agendanga eri kabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye singa ennyama erungudde ekyuka n’efuuka enjeru, omuntu oyo anajjanga eri Kabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye okulunguula bwe kukyukanga nate ne kufuuka olususu olweru, kale anajjanga eri kabona,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ebbwa bwe liwona ne waddawo obupeeruufu, omuntu oyo anaagendanga eri kabona,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba ennyama enjere bw'ekyukanga nate n'efuuka okuba enjeru, kale anajjanga eri kabona,