Leviticus 13:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona anaamukeberanga, ennyama ento bw'eneebanga efuuse njeru, omulwadde anaamulangiriranga nti mulongoofu, olwo anaabanga mulongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anaamukeberanga, bw’anaazuulanga ng’olususu olulwadde lufuuse lweru, anaalangiriranga omulwadde oyo okuba omulongoofu; bw’atyo anaabanga mulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kabona anaamukeberanga era bw'anaalabanga ng'olususu lufuuse olweru, kale anaayatuliranga omulwadde nti mulongoofu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kabona n'addamu okumukebera. Awaali ebbwa bwe waba nga wapeeruuse, oyo nga mulongoofu, era kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kabona n'amukebera: era, laba, endwadde bw'ebanga efuuse okuba enjeru, kale kabona anaamwatuliranga omulwadde nga mulongoofu: oyo mulongoofu.