Leviticus 13:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ate mu kifo awabadde ejjute ne wajjawo ekizimba ekyeruukirivu oba ebbala erimyukirivu, oyo yeeraganga ewa kabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kyokka mu kifo awaali ejjute ne wajjawo obuzimbu obweru oba akatulututtu akatwakaavu, wasaana walagibwe kabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awabadde ejjute ne waddawo ekizimba ekyeru oba embalabe erungudde enjeruyeru oba emyufumyufu, kale kinaalagibwanga kabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
naye oluvannyuma awaali ejjute ne waddawo ekizimba ekyeru, oba ebbala erimyukirivu, omuntu oyo anaagendanga eri kabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'awaali ejjute ne wabaawo ekizimba ekyeru, oba mbalabe erungudde, enjeruyeru era emmyufumyufu, kale kinaalagibwanga kabona;