Leviticus 13:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omuntu bw'afunanga ekizimba oba okubutukabutuka, oba ebbala essiiwuukirivu ku lususu lw'omubiri gwe, kiyinza okuba ekigenge ku lususu lw'omubiri gwe; atwalibwanga eri Aroni kabona, oba eri omulala yenna mu baana be bakabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuntu yenna bw’anaabanga n’akazimbye ku lususu lw’omubiri gwe, oba awabutuse, oba awali akatulututtu, ne wafaanana ng’awali endwadde ey’ebigenge, aleetebwenga eri Alooni kabona, oba eri omu ku batabani be bakabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu bw'anaabanga n'ekizimba oba kubutuka oba mbalabe erungudde ku lususu lwe, ekiyinza okuvaamu endwadde y'ebigenge, kale anaaleetebwanga eri Alooni kabona, oba eri omu ku baana be bakabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu bw'anaabanga n'ekizimba, oba ejjute, oba embalabe erungudde, ku lususu lwe, nga kiyinza okufuuka endwadde y'ebigenge, anaaleetebwanga eri Arooni kabona, oba eri omu ku bakabona ab'olulyo lwa Arooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu bw'anaabanga n'ekizimba oba kikuta oba mbalabe erungudde ku ddiba ly'omubiri gwe, ne kifuuka endwadde y'ebigenge ku ddiba ly'omubiri gwe, kale anaaleetebwanga eri Alooni kabona, oba eri omu ku baana be bakabona: