Leviticus 13:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona anaamukeberanga; singa ekizzeewo kiriba kisimye mu lususu n'obwoya obuliwo nga bweruse, anaamulangiriranga nti si mulongoofu, kubanga ekyo kigenge ekifulumye mu jjute.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anaakeberangawo, bw’anaasanganga nga wennyise okusinga olususu, nga n’obwoya bwawo bufuuse bweru; kale kabona analangiriranga omuntu oyo nga bw’atali mulongoofu. Obwo bulwadde bwa bigenge ebifulumidde awo awaali ejjute.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona anaakeberanga, era ekizimba bwe kinaalabikanga nga kisensedde wansi w'olususu n'obwoya bwawo nga bwerukiridde, kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu; nga ye ndwadde y'ebigenge, efulumye mu jjute.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona anaamukeberanga. Bwe kinaalabikanga ng'ebbala liyingidde munda okuyisa olususu, n'obwoya bwawo nga bweruse, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Eyo ye ndwadde y'ebigenge efulumye mu jjute.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo kabona anaakeberanga, era, laba, ekifaananyi kyakyo bwe kinaabanga nga kifulumye wansi w'eddiba, n'obwoya bwawo nga bufuuse okuba obweru, kale kabona anamwatuliranga nga si mulongoofu: ye ndwadde y'ebigenge, efulumye mu jjute.