Leviticus 13:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Naye kabona oluvannyuma lw'okumukebera, singa tewaabenga bwoya bweru mu kyo, nakyo nga tekisimye mu lususu n'okukendeera nga kikendedde, anaamukuumiranga bbali yekka okumala ennaku musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kabona bw’anaakeberangawo, n’asanga ng’obwoya obuliwo si bweru, ate nga tewennyise okusinga olususu era nga tewakyalabika nnyo, kale kabona anaasibanga omuntu oyo mu kalantiini okumala ennaku musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kabona bw'anaakikeberanga, era laba, nga temuli bwoya bweru, so nga tekisensedde wansi w'olususu era nga tekirabika bulungi, awo kabona anaamwawulanga okumala ennaku musanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kabona bw'anaakeberanga nga tewali bwoya bweru, era nga teweesimye kuyisa lususu, naye nga langi yaawo ntangaavu, olwo kabona anaamukuumiranga mu kifo yekka, okumala ennaku musanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kabona bw'anaakikeberanga, era, laba, nga temuli bwoya bweru, so nga tekifulumye wansi w'eddiba, naye nga tekirabika bulungi, awo kabona anaamusibiranga ennaku musanvu: