Leviticus 13:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebbala bwe lisigalanga nga bwe libadde ne liteeyongera kubuna, eyo ebadde nkovu ya jjute; kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye obuzimbu bwe bunaasigalanga mu kifo kimu ne butasaasaana, eyo eneebanga nkovu ya jjute, era kabona anaalangiriranga omuntu oyo nti mulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye embalabe erungudde bw'eneekomanga awo, era nga tebunye, eyo nga ye nkovu ey'ejjute; awo kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ebbala bwe linaakomanga awo, ne litabuna walala, eyo nga ye nkovu y'ejjute eriwonye. Awo kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye embalabe erungudde bw'eneekomanga awo, era nga tebunye, eyo nga ye enkovu ey'ejjute; awo kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu.