Leviticus 13:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kabona anaakeberanga ebbala eryo. Obwoya bwe buba butukuuliridde nga n'ebbala lisimye mu lususu, kino kigenge ekifulumye mu bbwa ly'omuliro. Kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Kino kigenge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kabona anaakeberangawo, obwoya bwawo bwe bunaabanga bufuuse bweru, ate nga walabika ng’awennyise okusinga olususu, ebyo nga bigenge bye bifulumye ku lususu oluyidde. Kabona anaalangiriranga omuntu oyo nti si mulongoofu; ebyo binaabanga bigenge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo kabona anaagikeberanga, era bwe wanaalabikanga ng'obwoya obw'omu mbalabe erungudde nga bwerukiridde era ng'embalabe esensedde wansi w'olususu; ebyo nga bye bigenge ebifulumye awayokebbwa. Kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kabona anaamukeberanga. Obwoya mu kifo ekyo bwe bunaafuukanga obweru, era ne kirabika nga weesimye okuyisa olususu, ebyo bye bigenge ebifulumye awaayokebwa. Kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo kabona anaagikeberanga: era, laba, obwoya obw'omu mbalabe erungudde bwe bunaabanga bufuuse okuba obweru, n'ekifaananyi kyayo nga kifulumye wansi w'eddiba; bino bye bigenge, byafuluma awaayokebwa: kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: nga ye ndwadde y'ebigenge.