Leviticus 13:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lwomusanvu anaamukeberanga; ebbwa bwe libanga ddala libunye ku lususu, anaamulangiriranga nti si mulongoofu; ekyo kigenge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaamukeberanga, kale bw’anaasanganga ng’obulwadde busaasaana ku lususu, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu; ebyo nga bigenge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku olw'omusanvu, kabona anaamukeberanga nate, bw'anaakizuulanga ng'endwadde ebunye ku lususu lwonna, kale anaamwatuliranga nga si mulongoofu, eyo nga y'endwadde ey'ebigenge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona anaddangamu okumukebera ku lunaku olw'omusanvu. Awalungudde bwe wanaabunanga awalala ku lususu, eneebanga ndwadde ya bigenge. Kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale kabona alimukebera ku lunaku olw'omusaavu: bw'eneebunanga ku ddiba, kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: nga ye ndwadde y'ebigenge.