Leviticus 13:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye oba ebbala lisigadde nga bwe lyali nga teribunye ku lususu, n'okukendeera nga likendedde, ekyo kizimba olw'omuliro. Kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu, kubanga eyo nkovu ya muliro yokka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye obulwadde bwe bunaasigalanga mu kifo ekimu ne butasaasaana ku lususu, era ng’awazimbu tewakyalabika nnyo, buno bunaabanga buzimbu obuleeteddwa omuliro ogwayokyawo; kale kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu; kubanga eyo y’enkovu ku lususu awaayokebwa omuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era embalabe erungudde bw'eneekomanga awo, nga tebunye ku lususu, era ng'okulunguula kukendedde, ekyo nga kye kizimba eky'okwokebwa, era kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu; kubanga eyo ye nkovu ey'okwokebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye awalungudde bwe wanaakomanga awo, ne wateeyongera kubuna walala, era nga langi yaawo ntangaavu, ebyo nga si bigenge. Era kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu, kubanga eyo nkovu ya muliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era embalabe erungudde bw'eneekomanga awo, nga tebunye ku ddiba, era nga terabika bulungi; nga kye kizimba eky'okwokebwa, era kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu: kubanga eyo ye nkovu ey'okwokebwa.