Leviticus 13:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona akeberanga ebbwa eriri ku mubiri gwe, bw'asanganga obwoya obuli mu bbwa nga bweruse n'ebbwa nga lisimye mu lususu lw'omubiri, ekyo kigenge ku lususu lw'omubiri gwe; kabona ng'amaze okumukebera, anaamulangiriranga nti si mulongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anaakeberanga ekifo ekyo awazimbye ku lususu, bw’anaasanganga ng’obwoya obuli awo awazimbye bufuuse bweru, ate nga awalwadde wennyise okusinga olususu lw’omubiri gw’omuntu oyo, ng’olwo ebyo bigenge. Kabona bw’anaamalanga okumukebera anaalangiriranga nti omuntu oyo si mulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabona anaakeberanga endwadde eri ku lususu; era obwoya obuli awali endwadde bwe buba nga bufuuse obweru, n'ekifaananyi ky'endwadde nga kisensedde wansi w'olususu, eyo nga ye ndwadde y'ebigenge. Awo kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona anaakeberanga endwadde eri ku lususu. Obwoya obuli awalwadde bwe bunaabanga bufuuse obweru, n'endwadde ng'erabika eyingidde munda okuyisa olususu, eyo nga ye ndwadde y'ebigenge. Awo kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale kabona anaakeberanga endwadde eri ku ddiba ly'omubiri: era obwoya obuli awali endwadde bwe buba nga bufuuse obweru, n'ekifaananyi ky'endwadde nga kifulumye wansi w'eddiba ly'omubiri gwe, nga ye ndwadde y'ebigenge: awo kabona anaamukeberanga, n'amwatulira nga si mulongoofu.