Leviticus 13:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kabona anaamukeberanga ebbwa. Bwe libanga lisimye mu lususu nga n'obwoya obulimu buseenyuuse ate nga bwa lumaggamagga, anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Ekyo kikeke, kigenge kya mu mutwe oba ku kalevu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kabona anaakeberanga ebbwa eryo, bwe linaabanga lyennyise okusinga olususu, nga n’obwoya obulirimu bwa kyenvu ate nga bwa matalaga; kale kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu; eryo nga lye bbwa erisiiwa, nga bye bigenge eby’oku mutwe oba eby’oku kalevu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kabona anaakeberanga endwadde eyo, era bw'anaakizuulanga ng'esensedde wansi w'olususu era nga mulimu n'e nviiri eza kyenvu ez'entalaga, kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu, ekyo nga kye kikakampa, bye bigenge eby'oku mutwe oba eby'oku kalevu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kabona anaagikeberanga. Bw'eneerabikanga ng'esimye okuyisa ku lususu, era ng'enviiri ezirimu za kyenvu, era nga za ntalaga, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Ebyo bye bigenge eby'oku mutwe, oba eby'oku kalevu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale kabona anaakeberanga endwadde: awo, laba, ekifaananyi kyayo bwe kinaabanga nga kifulumye wansi w'eddiba, era nga mulimu enviiri eza kyenvu ez'entalaaga, kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: ekyo kye kikakampa, bye bigenge eby'oku mutwe oba eby'oku kirevu.