Leviticus 13:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kabona bw'akeberanga ebbwa, ebbwa ne liba nga terisimye mu lususu n'obwoya obulimu nga si buddugavu, omulwadde anaamukuumiranga ebbali yekka okumala ennaku musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona bw’anaakeberanga ebbwa erisiiwa, n’asanga nga teryennyise kuyisa lususu, ate nga mu lyo nga temuliimu bwoya buddugavu, kale kabona anaasibiranga omuntu oyo alina ebbwa erisiiwa mu kalantiini amalemu ennaku musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kabona bw'anaakeberanga oyo alwadde ekikakampa n'alaba nga tekisensedde wansi w'olususu, so nga tewali nviiri nzirugavu, kale kabona anaamwawulanga okuva mu bantu okumala ennaku musanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kabona bw'anaakeberanga endwadde, nga terabika nti esimye okuyisa ku lususu, naye nga tewali nviiri nzirugavu, kabona anaakuumiranga omulwadde oyo mu kifo yekka, okumala ennaku musanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kabona bw'anaakeberanga endwadde ey'ekikakampa, era, laba, ekifaananyi kyayo nga tekifulumye wansi w'eddiba, so nga tewali nviiri nzirugavu, kale kabona anaamusibiranga omulwadde w'ekikakampa ennaku musanvu: