Leviticus 13:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lwomusanvu akeberanga ebbwa; ekikeke bwe kiba tekibunye, n'obwoya obulimu nga tebuseenyuuse, nga tekisimye mu lususu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakeberanga ebbwa eryo, bw’anaasanganga ng’okusiiwa tekusaasaanye, ate nga mu bbwa temuliimu bwoya bwa kyenvu, era ng’awasiiwa tewennyise kusinga lususu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo oluvannyuma lw'ennaku musanvu, kabona anaamukeberanga nate, bw'anaakizuulanga ng'ekikakampa tekibunye mu mutwe oba ku kalevu, era nga tewali nviiri za kyenvu, era nga tekisensedde wansi w'olususu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona anaddangamu okumukebera ku lunaku olw'omusanvu. Endwadde bw'eneebanga tebunye walala, era nga tewali nviiri za kyenvu, era nga terabika nti eyingidde okuyisa olususu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo ku lunaku olw'omusanvu kabona alikebera endwadde: era laba, ekikakampa bwe kinaabanga nga tekibunye, so nga tewali nviiri za kyenvu, n'ekifaananyi ky'ekikakampa nga tekifulumye wansi w'eddiba,