Leviticus 13:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
omuntu oyo amwebwanga yenna okuggyako awali ekirwadde, kabona n'ayongera okumukuumira ebbali yekka okumala ennaku endala musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
omuntu oyo asaananga amwebwe okuggyako awo awalwadde wokka; ate kabona anaamusibiranga mu kalantiini ennaku endala musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale anaamwebwanga, naye ekikakampa takimwanga; era anaamwawulanga okuva mu bantu, okumala ennaku musanvu endala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
omulwadde anaamwangako enviiri ze okuggyako awo awalwadde, kabona n'amukuumira mu kifo yekka, okumala ennaku endala musanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale anaamwebwanga, naye ekikakampa takimwanga; era kabona anaasibiranga omulwadde w'ekikakampa ennaku musanvu endala: