Leviticus 13:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lwomusanvu akeberanga ekikeke, bwe kibanga tekibunye ku lususu, kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu. Omulwadde ayozanga engoye ze; olwo anaabanga mulongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakeberanga awo awasiiwa, okusiiwa bwe kunaabanga tekusaasaanye ku lususu, ate nga tewennyise kusinga lususu, kale, kabona anaalangiriranga omuntu oyo nga bw’ali omulongoofu; era omuntu oyo anaayozanga engoye ze n’abeera mulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo oluvannyuma lw'ennaku musanvu, kabona anaakeberanga ekikakampa nate, bw'anaakizuulanga nga tekibunye lususu lwonna, era nga tekisensedde wansi waalwo, kale kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu, era anaayozanga engoye ze n'aba mulongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olw'omusanvu kabona anaakeberanga awalwadde. Endwadde bw'eneebanga tebunye walala ku lususu, era nga tekirabika nti eyingidde okuyisa olususu, anaamulangiriranga nti mulongoofu. Omulwadde anaayozanga ebyambalo bye, n'aba mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo ku lunaku olw'omusanvu kabona alikebera ekikakampa: kale, laba, ekikakampa bwe kinaabanga nga tekibunye ku ddiba, n'ekifaananyi kyakyo nga tekifulumye wansi w'eddiba; awo kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu: kale anaayozanga engoye ze, n'aba mulongoofu.