Leviticus 13:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kabona anaamukeberanga, bwe kibanga nga kibunye ku lususu, olwo teyetaaga na kunoonya bwoya buseenyuuse, kubanga ddala oyo si mulongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kabona anaayongeranga okumukebera, bw’anaasanganga ng’okusiiwa kusaasaanye ku lususu, kabona taanoonyenga bwoya bwa kyenvu mu bbwa eryo; omuntu oyo si mulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo kabona anaamukeberanga; bw'anaalabanga ng'ekikakampa kibunye ku lususu, tanoonyanga nviiri za kyenvu, oyo si mulongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
awo kabona anaamukeberanga. Bw'eneebanga ebunye awalala ku lususu, tekyetaagisenga kunoonya nviiri za kyenvu. Ddala oyo si mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo kabona anaamukeberanga: era, laba, ekikakampa bwe kinaabanga kibunye ku ddiba, kabona tanoonyanga nviiri za kyenvu; oyo si mulongoofu.