Leviticus 13:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ye nga bw'aba alabye, ebbwa bwe libanga terikyuseeko, nga n'obwoya obuddugavu buzzeemu okulimeramu, olwo ekikeke kiriba kiwonye, oyo mulongoofu, era kabona amulangiriranga nti mulongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mu kulaba kwa kabona, okusiiwa bwe kunaabanga tekweyongedde, nga n’obwoya obwa kyenvu bukuze mu bbwa, olwo ng’okusiiwa kuwonye, era omuntu oyo nga mulongoofu era kabona naye anaamulangiriranga nti mulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bw'anaalabanga ng'ekikakampa kikomye awo, n'enviiri enzirugavu nga zimezeewo; ekikakampa nga kiwonye, oyo nga mulongoofu; kale kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kabona bw'anaalabanga ng'endwadde ekomye awo, era ng'enviiri enzirugavu zimezeewo, endwadde ng'ewonye, era kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bw'anaalabanga ng'ekikakampa kikomye awo, n'enviiri enzirugavu nga zimezeewo; ekikakampa nga kiwonye, oyo mulongoofu: kale kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu.