Leviticus 13:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kabona anaagakeberanga. Amabala bwe gabeeranga nga meeruukirivu, kino kikaata ekitali kya maanyi ekiyiye ku lususu lw'omubiri gwe; oyo mulongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kabona anaamukeberanga, bw’anaasanganga ng’obutulututtu bweruyeru, okwo kuba kubutukabutuka okuyiise ku lususu lw’omuntu oyo, ye aba mulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale kabona anaamukeberanga; awo embalabe ezirungudde, eziri ku lususu bwe zinaabanga enjeruyeru, nga bwe butulututtu obufulumye mu lususu; oyo nga mulongoofu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kabona anaamukeberanga. Amabala bwe ganaabanga amapeeruufu, obwo nga butulututtu obufulumye mu lususu. Oyo mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale kabona anaakeberanga: awo, laba, embalabe ezirungudde eziri ku ddiba ly'omubiri gwabwe bwe zinaabanga enjeruyeru; nga bwe butulututtu, nga bufulumye mu ddiba; oyo mulongoofu.