Leviticus 13:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ebbala ku lususu lw'omubiri gwe bwe libanga nga si lyeru era nga terisimye mu lususu n'obwoya obulirimu nga tebweruse, kabona amukuumiranga bbali yekka okumala ennaku musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye awazimbye bwe wanaabanga walungudde, naye nga tewennyise okusinga olususu lw’omubiri gwe, ate nga n’obwoya mu wazimbye awo tebufuuse bweru, kabona anaasibiranga omuntu oyo omulwadde mu kalantiini okumala ennaku musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era embalabe erungudde bw'ebanga enjeru ku lususu, naye ekifaananyi kyayo nga tekisensedde wansi w'olususu, n'obwoya bwawo nga tebwerukiridde, kale kabona anaamwawulanga mu bantu okumala ennaku musanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ekizimba ekirungudde bwe kiba ekyeru, nga kirabika tekiyingidde munda kuyisa lususu, n'obwoya nga tebufuuse bweru, kabona anaakuumiranga omuntu oyo mu kifo yekka, okumala ennaku musanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era embalabe erungudde bw'ebanga enjeru ku ddiba ly'omubiri gwe, n'ekifaananyi kyayo nga tekifulumye wansi w'eddiba, n'obwoya bwawo nga tebufuuse bweru, kale kabona anaasibiranga ow'endwadde ennaku musanvu: