Leviticus 13:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omusajja bw'akunyuukanga enviiri ku mutwe, ekyo kiwalaata kya mu mutwe, oyo mulongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omusajja bw’anaakuunyuukangako enviiri ze ku mutwe gwe zonna, anaabeeranga kyemwa, naye nga mulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era omusajja bw'anaabanga akuunyuse enviiri ez'oku mutwe gwe, oyo nga wa kiwalaata; era nga mulongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omusajja bw'anaakuunyuukanga enviiri ku mutwe mu kawompo oba enkoto, oyo aba wa kiwalaata, mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omusajja bw'anaabanga akuunyuuse enviiri ez'oku mutwe gwe, oyo nga wa kiwalaata; (naye) mulongoofu.