Leviticus 13:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mu kiwalaata eky'omu mutwe gwe, oba mu bwenyi bwe, bwe mujjangamu ebbwa eryeruukirivu oba erimyukirivu, ekyo kigenge ekifulumye mu kiwalaata eky'omu mutwe gwe oba mu kiwalaata eky'omu bwenyi bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mu mutwe omutali nviiri oba mu kiwalaata eky’omu bwenyi bwe munaabangamu akafo akalwadde ebbwa nga kalungudde keeruyeru nga kalimu obumyufumyufu, ebyo nga bigenge bye bifulumye mu mutwe ogutaliimu nviiri oba mu kiwalaata eky’omu bwenyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye endwadde enjeruyeru era emmyufumyufu bw'eneebanga ku mutwe ogw'ekiwalaata oba mu kawompo ak'ekiwalaata; ebyo nga bye bigenge ebifuluma mu mutwe gwe ogw'ekiwalaata oba mu kawompo ke ak'ekiwalaata.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ekibambya ekimyukirivu, oba ekyeruyeru, bwe kirabika awakuunyuuse enviiri, eyo nga ndwadde ya bigenge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye endwadde enjeruyeru era emmyufumyufu bw'eneebanga ku mutwe ogw'ekiwalaata oba mu kawumpo ak'ekiwalaata; ebyo bye bigenge ebifuluma mu mutwe gwe ogw'ekiwalaata oba mu kawumpo ke ak'ekiwalaata.