Leviticus 13:43 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona amukeberanga. Ebbwa bwe libanga lyeruukiridde oba nga limyuukiridde mu kiwalaata eky'omu mutwe gwe oba mu kiwalaata eky'omu bwenyi bwe ng'ekigenge eky'oku lususu lw'omubiri,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale kabona anaakeberanga omuntu oyo, bw’anaasanganga ng’akafo ako awalwadde ebbwa era awazimbye mu mutwe oguweddemu enviiri oba mu kiwalaata ekiri mu bwenyi, nga kalungudde era nga weeruyeru nga kalimu obumyufumyufu, nga walabika ng’ebigenge bwe biba nga biri ku lususu olw’omubiri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona anaamukeberanga; kale, laba, ekizimba bwe kinaabanga ekyeruyeru era ekimyufumyufu ku mutwe gwe ogw'ekiwalaata, oba mu kawompo ke ak'ekiwalaata, ng'endwadde y'ebigenge bw'ebeera ku lususu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona anaamukeberanga. Bw'anaabangako ekibambya ekimyukirivu era ekyeruyeru,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabona anaamukeberanga: kale, laba, ekizimba eky'endwadde bwe kinaabanga ekyeruyeru era ekimyufumyufu ku mutwe gwe ogw'ekiwalaata, oba mu kawumpo ke ak'ekiwalaata, ng'ekifaananyi ky'ebigenge bwe kiri ku ddiba ly'omubiri;