Leviticus 13:46 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebbanga lyonna ly'amala n'ekigenge, si mulongoofu. Abeeranga yekka, asulanga bweru w'olusiisira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebbanga lyonna omuntu ly’anaamalanga ng’alina obulwadde obwo anaabeeranga si mulongoofu. Anaasulanga yekka mu nnyumba ye ebweru w’olusiisira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiseera kyonna ky'anaamalanga nga mulwadde, anaabeeranga atali mulongoofu; anaabeeranga yekka; ennyumba ye eneebanga bweru wa lusiisira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebbanga lyonna ly'anaamalanga ng'akyali mulwadde, taabenga mulongoofu. Anaabeeranga yekka. Ennyumba ye, eneebeeranga bweru wa lusiisira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennaku zonna endwadde ng'ekyali ku ye anaabanga atali mulongoofu; si mulongoofu: anaabeeranga yekka; ennyumba ye eneebanga bweru wa lusiisira.