Leviticus 13:49 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'ebbala eryo ku lugoye, oba ku ddiba, oba ku kiruke oba ekirange, oba ekintu ekikole mu ddiba, lya kiragala oba limyuukirivu, ekyo kigenge kya bukuku. Ekintu kiragibwanga kabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era obulwadde obwo bwe bunaalabikanga nga bwa langi ya kiragalalagala oba myufumyufu, nga buli mu kyambalo oba mu nfunyiro oba mu ntabiro zaakyo, oba mu kyambalo kyonna ekitungiddwa mu maliba; obwo nga bulwadde bwa bigenge, era bunaalagibwanga kabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era endwadde bw'ebanga eyakiragala oba mmyufumyufu ku kyambalo, oba ku ddiba oba ku wuuzi ez'olugoye, oba ku kintu kyonna eky'eddiba; eyo nga ye ndwadde ey'ebigenge era eneeragibwanga kabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
endwadde eyo bw'eba eya kiragalalagala, oba emmyukirivu ku kyambalo oba ku ddiba, oba ku kintu ekyakolebwa mu ddiba, eyo nga ndwadde ya bigenge, era eneeragibwanga kabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
endwadde bw'eneebanga eya nnawandagala oba emmyufumyufu ku kyambalo, oba ku ddiba, oba ku wuuzi ez'obusimba, oba ku z'obukiika, oba ku kintu kyonna eky'eddiba; eyo nga ndwadde ya bigenge, era eneeragibwanga kabona: