Leviticus 13:51 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwomusanvu addangamu n'akikebera, bw'aliraba ng'obukuku bubunye ku lugoye, oba ku kiruke oba ekirange mu wuulu oba kitaani, oba ku ky'eddiba ekya buli ngeri, ekyo kigenge ekikwata; ekintu si kirongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakeberanga obulwadde obwo. Bw’anaasanganga ng’obulwadde obwo bauaasanye mu kyambalo, mu nfunyiro oba mu butungiro oba mu maliba, oba mu kyonna ekitungiddwa mu maliba, ng’amanya ng’obulwadde obwo bwa bigenge ebitta n’omuntu; ekyo ekyambalo nga si kirongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lw'ennaku omusanvu, kabona anaddangamu n'akebera ekyambalo nate, endwadde bw'eneerabikanga ng'ebunye ku kyambalo kyonna oba ku ddiba, oba ku kintu kyonna ekikolebwa mu ddiba; ebyo nga bye bigenge ebizibu ennyo; nga si kirongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaddangamu okukebera endwadde eyo ku lunaku olw'omusanvu. Bw'eneebanga ebunye awalala, nga bye bigenge ebirya. Ekintu ekyo kinaabanga ekitali kirongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale alikebera endwadde ku lunaku olw'omusanvu: endwadde bw'eneebanga ebunye ku kyambalo, oba ku wuuzi ez'obusimba, oba ku z'obukiika, oba ku ddiba, omulimu gwonna eddiba gwe likola; endwadde nga bigenge ebirya; nga si kirongoofu.