Leviticus 13:52 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olugoye, oba ekiruke oba ekirange mu wuulu oba kitaani, oba ekintu kyonna eky'eddiba, ekisiigiddwa obulwadde, akyokyanga omuliro, kubanga ekigenge kikwata; ekintu si kirongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anaayokyanga ebyambalo ebyo, obanga obulwadde buli mu nfunyiro oba mu ntabiro ez’ebyambalo ebya bafuta oba eby’ebyoya by’endiga, oba ebirala byonna ebitungiddwa mu maliba, kubanga obwo bwe bulwadde bw’ebigenge ebittira ddala. Ebyambalo ebyo binaayokebwanga mu muliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyambalo kyonna oba kya wuuzi, oba kya byoya, oba kya bafuta oba kya kintu ekikolebwa mu ddiba ekiriko ebigenge ebizibu ennyo kinaayokebwanga n'omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona anaakyokyanga mu muliro, kubanga ebyo bye bigenge ebirya. Biteekwa okuzikirizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo anaayokyanga ekyambalo, oba wuuzi za busimba, oba za bukiika, oba ng'eri mu byoya oba mu bafuta, oba mu kintu kyonna eky'eddiba, omuli endwadde: kubanga ebyo bye bigenge ebirya; kinaayokebwanga mu muliro.