Leviticus 13:53 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kabona oluvannyuma lw'okukikebera bw'asanganga obukuku tebubunye ku lugoye, ku kiruke, oba ku kirange, oba ku kintu eky'eddiba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kabona bw’anaabanga akebedde ekyambalo ekirimu obulwadde, n’asanga nga tebusaasaanye mu kyambalo, ne mu nfunyiro zaakyo, oba ne mu ntabiro, oba ne mu kyonna ekitungiddwa mu maliba,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kabona bw'anaakeberanga n'alaba ng'endwadde tebunye mu kyambalo ekyo, newakubadde ekintu kyonna ekikoleddwa mu ddiba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye kabona bw'anaakeberanga n'alaba ng'endwadde tebunye mu kintu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kabona bw'anaakeberanga, kale, laba, endwadde nga tebunye mu kyambalo, newakubadde mu wuuzi ez'obusimba, newakubadde mu z'obukiika, newakubadde mu kintu kyonna eky'eddiba;