Leviticus 13:54 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
alagiranga ne booza ekyo ekyasiigibwa obulwadde; olwo ate n'akikuumira ebbali kyokka okumala ennaku musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kale kabona anaalagiranga ne bayoza ekyambalo ekyo omuli obulwadde, n’ayongera okukisibira mu kalantiini ennaku endala musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo kabona anaalagiranga booze ekintu ekirimu endwadde, era anaakyawulanga okumala ennaku musanvu endala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
anaalagiranga ne bakyoza, ne kiterekebwa okumala ennaku endala musanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale kabona anaalagiranga booze ekintu ekirimu endwadde, n'akisibira ennaku musanvu endala: