Leviticus 13:55 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekintu ekyafuna ekigenge bwe kimalanga okwozebwa, obukuku bwe bubanga busigadde nga bwe bwali, newandibadde nga tebubunye, kiriba si kirongoofu; okyokyanga omuliro; oba obukuku buli mu maaso oba mabega waakyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabona anaakeberanga ekyambalo ekyo ekyoze, bw’anaasanganga ng’erangi y’akafo awali obulwadde tekyuse, newaakubadde ng’obulwadde tebusaasaanye, ekyambalo ekyo nga si kirongoofu. Mukyokyanga mu muliro, awali ebigenge ne bwe wanaabanga mu kyambalo mu maaso oba mu mabega gaakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona bw'anaakeberanga ekyambalo, oba ekintu kyonna ekimaze okwozebwa, n'alaba ng'endwadde tekyusizza langi yaayo, so nga tebunye wonna; oba kungulu w'ekyambalo oba ekintu ekirala kyonna, nga si kirongoofu; anaakyokyanga n'omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo anaakikeberanga. Endwadde bw'eneebanga tekyusizza bbala lyayo, ne bw'eneebanga tebunye, ekyo tekiibenga kirongoofu. Munaayokyanga ekintu ekyo, okukuubuuka oba kuli munda oba kungulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo kabona anaakeberanga, endwadde ng'emaze okwozebwa: kale, laba, endwadde bw'eneebanga tekyusizza bbala lyayo, era endwadde nga tebunye, ekyo nga si kirongoofu; onookyokyanga mu muliro: eyo ye ndwadde erya, okukuubuuka bwe kunaabanga munda oba kungulu.