Leviticus 13:56 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nga kimaze okwozebwa, kabona bw'akikeberanga, obukuku ne buba nga bukendedde, ekitundu ekyasiigibwa obulwadde akisalangamu mu lugoye, oba ku kintu eky'eddiba, oba mu kiruke, oba ekirange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kabona bw’anaakeberanga n’asanga nga bwe bamaze okwoza ekyambalo, akafo ako awali obulwadde tekakyalabika nnyo, akafo ako anaakayuzangamu mu kyambalo ekyo, oba mu ddiba oba mu kiruke kyonna ekyambalwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lw'okwoza ekyambalo, kabona bw'anaakeberanga n'alaba ng'endwadde teyeeyongedde kusaasaana, kale anaayuzangawo ekiwero awali endwadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kabona bw'anaddangamu okukikebera, endwadde n'eterabika nnyo, anaagiyuzanga mu kyambalo oba mu ddiba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kabona bw'anaakeberanga, era, laba, endwadde nga terabika bulungi ng'emaze okwozebwa, kale anaagiyuzanga okugiggya mu kyambalo oba mu ddiba, oba mu wuuzi ez'obusimba, oba mu z'obukiika: