Leviticus 13:57 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obukuku bwe bweyongeranga okulabika ku lugoye, oba ku kiruke, oba ekirange, oba ku kintu kyonna eky'eddiba, awo kiriba kyongera okubuna; buli kirina obukuku kya kwokyanga omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye obulwadde obwo bwe bunaalabikanga nate mu kyambalo, oba mu kyambalo eky’eddiba oba ekiruke, nga busaasaanye, kale munaayokyanga mu muliro ekyambalo ekyo omuli obulwadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bw'anaakizuulanga oluvannyuma lw'okwozebwa ng'endwadde esaasaana busaasaanyi, anaakyokyanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Endwadde bw'eneddangamu okulabika, nga ndwadde ya bigenge. Olwo nnannyini kintu ekyo anaakyokyanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era bw'eneebanga ekyalabika mu kyambalo, oba mu wuuzi ez'obusimba, oba mu z'obukiika, oba mu kintu kyonna eky'eddiba, ng'efuutuuka: onooyokyanga n'omuliro ekyo ekirimu endwadde.