Leviticus 13:58 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye olugoye, oba ekiruke, oba ekirange, oba ekintu eky'eddiba ekya buli ngeri ndala yonna ekimaze okwozebwa, ne kiba nga tekikyalina bukuku, kyozebwanga ogwokubiri, olwo kinaabanga kirongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mu kyambalo kyonna, oba ekyambalo eky’eddiba oba ekiruke, obulwadde bwe buggwangamu nga kimaze okwozebwa, kale kinaayozebwanga omulundi ogwokubiri, ne kiba kirongoofu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekyambalo kyonna eky'olugoye oba eky'ekintu kyonna eky'eddiba bwe kinaayozebwanga n'ekirabika ng'endwadde evuddemu, kinaayozebwanga nate omulundi ogwokubiri ne kiryoka kiba kirongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'anaakyozanga, ebbala ne liggwaamu, anaddangamu n'akyoza, ne kibalibwa nga kirongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekyambalo oba wuuzi ez'obusimba, oba ez'obukiika, oba kintu kyonna eky'eddiba nga bwe kinaabanga, ky'onooyozanga, endwadde bw'eneebanga ebivuddemu, kale ne kiryoka kyozebwanga omulundi ogw'okubiri, ne kiba kirongoofu.