Leviticus 13:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwomusanvu, anaamukeberanga; ekiba bwe kiba nga kiddugazzaddugazza, era nga tekibunye ku lususu, alangiriranga nti mulongoofu, kubadde kubutuukirira kwokka. Oyo ayozanga engoye ze, olwo anaabanga mulongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaddangamu okumukebera, kale bw’anaasanganga ng’obuzimbu tebukyalabika nnyo, era obulwadde obwo nga tebusaasaanye ku lususu, anaamulangiriranga nti mulongoofu; kubanga kubadde kubutuka bubutusi. Omuntu oyo anaayozanga engoye ze, era anaabanga mulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku olw'omusanvu, kabona anaamukeberanga nate, era endwadde bw'enaabanga tekyalabika nnyo, nga tebunye ku lususu, anaamwatuliranga nga mulongoofu, nga kubadde kubutuka bubutusi; anaayozanga engoye ze, n'aba nga mulongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona anaamukeberanga nate ku lunaku olw'omusanvu. Endwadde bw'eba ng'ekendedde, era nga teyeeyongedde kubuna walala ku lususu, kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu, alina kizimba buzimba. Awo omuntu oyo anaayozanga ebyambalo bye, n'aba mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo kabona alimukebera nate ku lunaku olw'omusanvu: kale, laba, endwadde bw'eba nga tekyalabika nnyo, n'endwadde nga tebunye ku ddiba, kale kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu: nga kye kikuta: kale anaayozanga engoye ze, n'aba mulongoofu