Leviticus 13:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ng'amaze okweraga ewa kabona alangirirwe nti mulongoofu, ate ebbala ne likomawo, ne libunira ddala ku lususu, addangamu okweraga ewa kabona;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye okubutuka okwo bwe kunaasaasaananga ku lususu oluvannyuma lw’okweyanjula eri kabona amulangirire nti mulongoofu, anaateekwanga okuddayo eri kabona yeeyanjule buto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye okubutuka bwe kunaabunanga ku lususu ng'amaze okweraga eri kabona, olw'okulongoosebwa kwe, anaddangamu okweraga nate eri kabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ekizimba bwe kineeyongeranga okubuna awalala ku lususu, nga kabona amaze okumukebera n'okumulangirira bw'ali omulongoofu, anaddangamu okweyanjula eri kabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ekikuta bwe kinaabunanga ku ddiba, ng'amaze okweraga eri kabona olw'okulongoosebwa kwe, aneeraganga nate eri kabona: