Leviticus 13:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kabona anaamukeberanga; ebbala bwe libanga libunye ku lususu, anaamulangiriranga nti si mulongoofu; ekyo kigenge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anaamukeberanga, bw’anaasanganga ng’okubutuka kusaasaanye ku lususu ku mubiri, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu; ng’ebyo bigenge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabona anaamukeberanga, era okubutuka bwe kunaabanga kubunye ku lususu, anaamwatuliranga nti alwadde ebigenge; si mulongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona anaddangamu okumukebera. Ekizimba bwe kiba nga kibunye awalala ku lususu, anaamulangiriranga nti si mulongoofu, nga by'alina bye bigenge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale kabona anaakeberanga, era, laba, ekikuta bwe kinaabanga kibunye ku ddiba, awo kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: nga bye bigenge.