Leviticus 14:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ku lunaku olwomunaana, aleetanga obuliga bubiri obulume obutaliiko kamogo n'akaliga akakazi ak'omwaka ogumu akataliiko kamogo, n'obuwunga obw'eŋŋano obukuŋŋunte obulungi obuweza ebyekkumi bisatu ebya efa ne logi emu ey'omuzigo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ku lunaku olw’omunaana anaaleetanga abaana b’endiga abalume babiri abataliiko kamogo, n’omwana gw’endiga omuluusi nga gwa mwaka gumu ogw’obukulu, n’aleeterako n’obuwunga obulungi obw’emmere ey’empeke obuweza kilo ssatu obw’ekiweebwayo, ng’abutabudde mu mafuta, n’aleeterako n’ebbakuli y’amafuta ag’omuzeeyituuni eweza desimoolo ssatu eza lita.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ku lunaku olw'omunaana anaatwalanga abaana b'endiga abalume babiri abataliiko bulema, n'omwana gw'endiga omuluusi gumu ogw'omwaka ogumu ogutaliiko bulema, n'ebitundu bisatu eby'ekkumi eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, okuba ekiweebwayo eky'obutta, n'ekibya kimu eky'amafuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ku lunaku olw'omunaana anaaleetanga abaana b'endiga babiri aba sseddume, n'endiga enduusi emu ey'omwaka ogumu, zonna nga teziriiko kamogo, ne kilo ssatu ez'obuwunga bw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo gw'ebibala by'emizayiti, n'aleeta n'ekimu ekyokusatu ekya lita y'omuzigo gw'ebibala by'emizayiti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku olw'omunaana anaddiranga abaana b'endiga abalume babiri abataliiko bulema, n'omwana gw'endiga omuluusi ogumu ogwakamaze omwaka ogumu ogutaliiko bulema, n'ebitundu bisatu eby'ekkumi eby'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta, obutabuddwamu amafuta, n'ekibya kimu eky'amafuta.