Leviticus 14:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona anaamulangirira okuba omulongoofu amuleetanga na bino byonna n'amwanjula mu maaso g'Omukama ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabona ow’okulangiriranga omuntu oyo okuba omulongoofu, anaamuleetanga, awamu n’ebiweebwayo bye, awali Mukama Katonda mu mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne kabona amulongoosa, anaateekanga omuntu agenda okulongoosebwa n'ebintu ebyo mu maaso ga Mukama, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona anaateekanga omuntu oyo n'ebintu ebyo mu maaso ga Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kabona amulongoosa anaateekanga omuntu agenda okulongoosebwa n'ebintu ebyo mu maaso ga Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: