Leviticus 14:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kabona addiranga akaliga akalume akamu n'akaweereza ng'ekitambiro olw'omusango wamu ne logi y'omuzigo. Bino abiwuubanga mu maaso g'Omukama ng'ekitone eky'okuwuuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabona anaddiranga omu ku baana b’endiga omulume n’aguwaayo awamu n’epakuli y’amafuta ag’omuzeeyituuni, ng’ekiweebwayo olw’omusango, anaabiwuubanga ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda ekiwuubibwawuubibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona anaddirangako ogumu ku baana b'endiga omulume, n'aguwaayo okuba ekiweebwayo olw'omusango, n'ekibya eky'amafuta, n'abiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabona anaddiranga emu ku ndiga ento eza sseddume, awamu n'ekimu ekyokusatu ekya lita y'omuzigo ogw'emizayiti, n'abiwaayo ng'omutango, n'abiwuuba, ne biba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo kabona anaddirangako gumu ku baana b'endiga omulume, n'aguwaayo okuba ekiweebwayo olw'omusango n’ekibya eky’amafuta, n’abiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama.