Leviticus 14:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akaliga akattiranga mu kifo ekitukuvu we battira ebitone eby'ekitambiro olw'ekibi n'eby'ekitambiro ekyokye. Nga bwe kiri ku kitambiro olw'ekibi, n'eby'ekitambiro olw'omusango biddira kabona, bintu bitukuvu nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwana gw’endiga ogwo anaaguttiranga mu kifo ekitukuvu, ekiweebwayo olw’ekibi n’ekiweebwayo ekyokebwa we bittirwa. Okufaanana ng’ekiweebwayo olw’ekibi, ekiweebwayo olw’omusango nakyo kinaabanga kya kabona; nga kitukuvu nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo anattiranga omwana gw'endiga omulume mu kifo ekitukuvu mwe battira ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo ekyokebwa, kubanga ekiweebwayo olw'ekibi nga bwe kiri ekya kabona, n'ekiweebwayo olw'omusango bwe kiri bwe kityo; kitukuvu nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo anattiranga endiga eyo ento mu Kifo Ekitukuvu awattirwa ensolo ez'ebiweebwayo olw'ekibi, n'ez'ebiweebwayo ebyokebwa. Anaakolanga bw'atyo kubanga ekiweebwayo olw'omutango, okufaanana ng'ekiweebwayo olw'ekibi, kiba kya kabona era kitukuvu nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
anattirwanga omwana gw'endiga omulume mu kifo mwe battira ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo ekyokebwa, mu kifo ekiri mu kifo ekitukuvu: kubanga ekiweebwayo olw'ekibi nga bwe kiri ekya kabona, ekiweebwayo olw'omusango bwe kiri bwe kiti: ekyo kitukuvu nnyo;