Leviticus 14:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona addiranga ku logi y'omuzigo n'aguyiwa mu kibatu kye ekya kkono,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anaddiranga ku mafuta ag’omuzeeyituuni ag’omu pakuli n’agafukako mu kibatu ky’omukono gwe ogwa kkono,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ate kabona anaddiranga ku mafuta ag'omukibya n'agafuka mu kibatu ky'omukono gwe ogwa kkono,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona anaatoolanga ku muzigo ogw'ebibala by'emizayiti, n'agufuka mu kibatu ekikye kyennyini ekya kkono,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale kabona anaddiranga ku kibya ky'amafuta, n'agafuka mu kibatu eky'omukono gwe ye ogwa kkono: