Leviticus 14:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'annyika olunwe lwe olwa ddyo mu muzigo oguli mu kibatu kye ekya kkono, n'amansira emirundi musanvu mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
anannyikanga olunwe lwe olwa ddyo mu mafuta ag’omuzeeyituuni agali mu kibatu ky’omukono gwe ogwa kkono, n’amansira n’olunwe lwe ku mafuta ag’omuzeeyituuni emirundi musanvu awali Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo kabona anannyikanga olunwe lwe olwa ddyo mu mafuta agali mu mukono gwe ogwa kkono, n'agamansira emirundi musanvu mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'annyika olunwe lwe olwa ddyo mu muzigo ogwo oguli mu kibatu kye ekya kkono, n'agumansira emirundi musanvu awo mu maaso ga Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo kabona anannyikanga olunwe lwe olwa ddyo mu mafuta agali mu mukono gwe ogwa kkono, n'amansira ku mafuta n'olunwe lwe emirundi musanvu mu maaso ga Mukama: