Leviticus 14:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era ogukyafisseewo mu kibatu kabona aguyiwanga ku mutwe gw'oli atukuzibwa, bw'atyo anaddaabirizanga ku lulwe mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anaddiranga amafuta ag’omuzeeyituuni aganaabanga gasigadde mu kibatu kye n’agasiiga mu mutwe gw’oyo ajja okufuulibwa omulongoofu, n’amutangiririra awali Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amafuta agasigaddewo mu kibatu kya kabona, anaagasiiganga ku mutwe gw'oyo agenda okulongoosebwa, n'amutangirira mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuzigo ogusigadde mu kibatu kye, anaaguteekanga ku mutwe gw'oyo agenda okulangirirwa nti mulongoofu. Mu ngeri eyo kabona anaddaabirizanga ku lw'omuntu oyo mu maaso ga Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amafuta agasigalawo agali mu mukono gwa kabona anaagateekanga ku mutwe gw'oyo agenda okulongoosebwa: era kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama.