Leviticus 14:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona olwo atambiranga ekitambiro olw'ekibi n'addaabiriza ku lw'oyo atukuzibwako obutali bulongoofu. “Awo anattanga ekitone ky'ekitambiro ekyokye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anaawangayo ekiweebwayo olw’ekibi, atangiririre oyo atali mulongoofu ajja okufuulibwa omulongoofu. Oluvannyuma kabona anattanga ekiweebwayo ekyokebwa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kabona anaawangayo ekiweebwayo olw'ekibi, n'atangirira oyo agenda okulongoosebwa olw'obutali bulongoofu bwe, oluvannyuma n'alyoka atta ekiweebwayo ekyokebwa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kabona anaawangayo ekiweebwayo olw'ekibi, n'addaabiriza olw'oyo agenda okuggyibwako obutali bulongoofu. Oluvannyuma anattanga ensolo ey'ekiweebwayo ekyokebwa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kabona anaawangayo ekiweebwayo olw'ekibi, n'atangirira oyo agenda okulongoosebwa olw'obutali bulongoofu bwe: oluvannyuma n'alyoka atta ekiweebwayo ekyokebwa: