Leviticus 14:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Lino lye tteeka ly'omukolo ogw'okutukuza omugenge ku lunaku lw'alitukuzibwa: Omugenge aleetebwanga ewa kabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Lino lye tteeka erinaagobererwanga ku lunaku omugenge lw’anaafuulibwanga omulongoofu mu ngeri entongole ng’aleeteddwa eri kabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Lino lye linaabanga etteeka ly'omugenge anaaleetebwanga eri kabona ku lunaku olw'okulongoosebwa kwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Lino lye tteeka erinaagobererwanga mu kutukuza awonyezeddwa endwadde y'ebigenge. Ku lunaku lw'anaalangirirwangako nti mulongoofu, anaaleetebwanga eri kabona,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lino lye linaabanga etteeka ly'omugenge ku lunaku olw'okulongoosebwa kwe: anaaleetebwanga eri kabona: