Leviticus 14:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona akiweerezanga ku mwaliiro wamu n'ekitone eky'obuwunga, n'addaabiriza ku lulwe, olwo anaabanga alongoose.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’akiwaayo ku kyoto awamu n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo, n’afuuka mulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era kabona anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta ku kyoto. Bw'atyo Kabona anaamutangiriranga era anaabanga mulongoofu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'akiwaayo ku alutaari wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga olw'omuntu oyo, omuntu oyo n'aba mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era kabona anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta ku kyoto: era kabona anaamutangiriranga, kale anaabanga mulongoofu.