Leviticus 14:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bw'aba nga mwavu ebyo nga taasobole kubifuna: aleetanga akaliga akalume ng'ekitambiro olw'omusango kawuubwe olw'okuddaabiriza ku lulwe, ko n'obuwunga obw'eŋŋano obukuŋŋunte obulungi obuweza ekyekkumi kimu ekya efa nga butabuddwamu omuzigo olw'ekitone eky'obuwunga, ko ne logi y'omuzigo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye omuntu oyo bw’anaabanga omwavu ng’ebyo byonna tabisobola, anaaleetanga omwana gw’endiga omulume gumu okuba ekiweebwayo olw’omusango, ne kiwuubibwa okumutangiririranga, okwo n’agattirako ne kimu kya kkumi ekya efa eky’obuwunga obulungi ennyo obutabikiddwa mu mafuta, nga kye kiweebwayo eky’emmere y’empeke, n’agattako n’epakuli y’amafuta ag’omuzeeyituuni;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye bw'anaabanga omwavu n'atayinza kufuna ebyenkana awo, kale anaddiranga omwana gw'endiga ogumu omulume okuba ekiweebwayo olw'omusango okuwuubibwa, okumutangirira, n'ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta, n'ekibya ky'amafuta;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bw'anaabanga omwavu atasobola kufuna byenkana awo, anaaleetanga omwana gw'endiga ogwa sseddume gube ogw'omutango. Gunaabanga ekiweebwayo eri Mukama nga kiwuubibwa, ekitwalibwa kabona. Anaaleetanga kilo emu ey'obuwunga bw'eŋŋaano, obutabuddwamu omuzigo gw'ebibala by'emizayiti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bw'anaabanga omwavu n'atayinza kufuna ebyenkana awo, kale anaddiranga omwana gw'endiga ogumu omulume okuba ekiweebwayo olw'omusango okuwuubibwa, okumutangirira, n'ekitundu kimu eky'ekkumi eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta, n'ekibya ky'amafuta;